Museveni-Mbabazi

MUSEVENI ASUUBIZZA BUSOGA OKWAKAAYAKANA

Ababaddenga babba eddagala okuva mu malwaliro ga Gov’t nebamala basigala nga balya butaala awamu n’okuleeleetanga ku luno bubakeeredde oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulagira bano bakwatibwe mu bwangu ddala era basimbwe mu mbuga z’amateeka n’oluvannyuma nga gibasse muvvi basibwe.

Bwayogeddeko nebannamawulire abakakkalabiza mu ttundutundu lya Jinja Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti ebyo byonna ebizzenga biremesa bannayuganda okweyagalira munsi yaabwe awamu n’ebibaddenga bibalemesa okwekulaakulanya waakubinogera eddagala.

Yoweri Kaguta Museveni asuubizza okukola ku mbeera y’amakubo gonna mu ttundutundu lino era n’agamenya awamu n’okubateerawo embeera ekulaakulanya eby’obulimi,eby’amakolero amatono n’amanene awamu n’okudduukirira eby’enjigiriza eri abataka mu Busoga n’emiriraano.

Olukungaana luno lutegekeddwa Kabwejungira bw’abadde afundikira kakuyegewe mu ttundutundu lya Busoga ng’obwanga obuddirira waakubwolekeza Bugwanjuba bwa ggwanga n’oluvannyuma alifundikira n’amasekkati g’eggwanga.

[fbcomments data-width="100%"]