museveni-atandise-ku-nsonga-za-makerere

Museveni asisikana Kagame

Kabwejungira Museveni ne muliraanwawe bwebafaananya emirimu mu Rwanda Paul Kagame baakusisinkana mu kibuga London ekya Bungereza mu kafubo akategekeddwa ku mabbali gólukiiko Ttabamawanga olwómukago gwa Bungereza ne Ssemazinga ono Africa olwébyóbusigansimbi oluggulwawo leero.

Bwekinaaba kisobose gwe gugenda okubeera omulundi ogusoose ababiri bano okuddamu nate okusisinkana bukyanga basisinkana mu kibuga Luanda ekya Angola bamale basse emikono ku ndagaano yóbutaddamu kusoowagana emberebezi eyabaviirako nókussa Emisanvu ku nsalo zaabwe bombi.

Ge tufunye okuva mu woofiisi emu ku nnene mu ministry yénsonga zámawanga amalala gatutegeezezza nti ensisinkano eno yégenda okuwa amawanga ekifaananyi ekituufu obanga abakulu bombi bakkanya okukkanya okwava ku ntobo zémitima gyabwe oba nedda.

[fbcomments data-width="100%"]