elly

Minister Tumwine ajjukidde ab’amawulire

Bannamawulire mu ggwanga ddaaki bajjukiddwa minister avunanyizibwa ku butebenkevu mu ggwanga Gen Elly Tumwine bwakutte mu ka Waliggo n’aggyamu ejjamba lye yeeyambisizza okubagulira Masks ezibikkwa ku mimwa n’ennyindo.

Ono asinzidde ku Ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala n’ategeeza nti bannamawulire abalaba ntakera nga balagajjalira obulamu bwe batanula okugawenja wano na wali wabula nga tebeetangidde n’agamba nti ate nga be basaanidde okubeera abasaale mu kulaga ensi ekisaanidde okukolwa okusinga okutegeezanga abantu abalala nga bo beeyitira batyo.

Kinajjukirwa nti mu kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga okukyasembyeyo ku kirwadde ekyo yategeeza nti mu kwetangira kawenkene w’ekirwadde ffenna ennyindo n’emimwa tetusaanidde kubirekanga bweru anti okwerinda baalugera tebuba butyi.

[fbcomments data-width="100%"]