kavera

Minister Atim Anywar atabukidde akaveera

Minister omubeezi ow’eby’obutonde n’amazzi Beatrice Atim Anywar ategeezezza nti okwerumaaluma ng’obwana bw’enjala okubaddewo wakati w’ebitongole bya Gov’t mu kaweefube w’okuwera Obuveera mu ggwanga ye Nnabe abadde abuviiriddeko okulemera wano.Ono bino abyogedde bwabadde ayongera okukkaatiriza ku kiragiro kye yawadde ku kaveera okutandika ne leero.Anywar alabudde kkampuni zonna ezikyefulubenda n’ogw’okufulumya obuveera nti zoolekedde okufiirwa ssinga teziikyuse mirimu gyzo ne zitandika kufulumya bitakosa butonde.

Bwayogeddeko ne bannamawulire,Minister Anywar asabye Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II n’abakulembeze b’ennono abalala okwogerako n’abantu baabwe ku nsonga yeemu.Bannabyabutonde ku luuyi olulala basanyukidde enteekateeka eno nga mu bano mulimu Ritah Kyategeka ow’eby’empuliziganya mu kibiina ky’obwannakyewa ekya World Wide Fund n’asaba minister ku mulundi guno awanirwe nnyo.

[fbcomments data-width="100%"]