museveni-atandise-ku-nsonga-za-makerere

MUSEVENI ATANDISE KU NSONGA ZA MAKERERE

Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni alonze akakiiko ka bantu mwenda akagenda okutaganjula ensonga za Ssettendekero wa Makerere balabe kalunsambulira agiviiriddeko obutaggwangamu bwegugungo bwa basomesa n’abayizi.

Kitegeezeddwa nti akakiiko kano kaakutaganjula alipoota zonna ezizze zikolebwa ku nsonga za Ssettendekero ono okwo ssaako okuleeta ebirowoozo ebiggya n’okusemba emitendera emirala eginaatebenkeza Ssettendekero.

Akakiiko kano akakulemberwa Dr Abel Rwendeire n’amyukibwa Omulamuzi Keturah Katungukah ate abalala nekubeerako Hon Tim Lwanga,Dr Florence Muranga,Dr Proscovia Namubiru,John Muwanga,Dr Paul Musaasizi n’abalala.

Abakungu bano balagiddwa okutandikirawo mbagirawo banonyereze ku mbeera za Ssettendekero ono.

Photo: Google Play

[fbcomments data-width="100%"]