abadde-awamba-magogo-mukwate

ABADDE AWAMBA MAGOGO MUKWATE

Poliisi ya Kampalamukadde ekutte muunabyamizannyo Dan Walusimbi bwabadde agezaako okwetyebeka mu ntebe ya ssenkaggale w’ekibiina ky’eby’emizannyo mu ggwanga ekya FUFA.

Tutegeezeddwa nti Walusimbi agenze ku kitebe kya FUFA wano e Mengo atuukirize ekirootokye eky’obwa Ssenkaggale w’ekibiina kino ng’agamba nti ye mutuufu asaanidde okutuula mu woofiisi omutudde Moses Magogo.

Aduumira poliisi ya Kampalamukadde Charles Nsaba akakasizza okukwatibwa kwa Walusimbi.Kinajjukirwa nti poliisi yakedde kuyiwa abasajja baayo ku kitebe kino oluvannyuma lw’okubagulizibwako nti Walusimbi abadde ajja kweddiza woofiisi ya Magogo.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: Red Pepper

[fbcomments data-width="100%"]