luttamaguzi

Luttamaguzi atabukidde abanene abakodo

Abanene mu Gavumenti eramula kuno basabiddwa obutalekera bannayuganda balala buvunanyizibwa bwa kudduukirira bantu bannaabwe mu kaweefube w’okubasondera eky’okulya mu kiseera kino wakati mu mbeera eriwo nga bwerabwa wabula nabo basitukiremu bakwateko mu nsawo.Bwayogeddeko naffe wano omubaka wa Nakaseke South Paulson Luttamaguzi agambye nti tebuba bwenkanya bannayuganda abatalina bwe bali kugabira ku bannaabwe ke balina ng’abakungu abanene mu Gavumenti abasuza obulindo n’obulindo bw’ensimbi basirise be cce bakola gwa kukwata bibaleeterwa balala nga gyoli tebalina kyebasobola kutoola.

Ono amenye abanene abawerako okutandikira waggulu ku Kabwejungira Museveni n’abamuddirira bonna baategeezezza nti tebannalabwako n’akatono nga batoola okuddiza ku bannayuganda wabula bakola gwa kwebaza baleese.

[fbcomments data-width="100%"]