kasadha

KHASADHA BYAKIKA Y’ANI?

Khasadha Byakika ge mannya Ebony Waiswa g’abaddenga akozesa ku mpewo ey’awummudde egy’obuweereza bw’oku mpewo bwamazeemu emyaka amakumi 20 ng’ono yeegatta ku lulyo lwa Beat FM mu mwaka gwa 2007.

Ono y’omu ku bakozi abaludde ku Radio eweerereza mu Luganda naye ng’anyumirwa nnyo okuweerereza mu lulimirwe oluzaaliranwa Olusoga.

Nga weetegerezza bulungi musajjamukulu ono afaanana muntu atali mwangu wa kuggya bigambo wabula bw’omusemberera kituufu aseetula emboozi wammaggwe n’egwa amakerenda.

Khasadha agamba nti ajjukira omulundigwe ogwasooka ku mpewo za Radio eyayitibwanga Green FM kweyawalirizibwa obuwalirizibwa okuweereza nnyiniyo Omugenzi Jerry Wampamba(Mukama amuwummuze mirembe)

Ku mpewo za Radio eno Musajjamukulu ono atutegeezezza nti yaweererezangako bwereere awatali mpeera yonna wabula nga musanyufu olw’obulamu obupya bweyali atandise.Byakika atutegeezezza nti mu mwaka nga gumu yali aliko byagenze ayiga nga n’ebyuma ebimu asobole okubyebeereramu yekka n’aweereza,eyo gye yava ne yeegatta ku Radio eyayitibwanga Greater African Radio eyabeeranga e Kamwokya gyeyasasulwanga Emitwalo etaano egya ssente za wano buli mwezi ng’eyo bweyavaayo n’akolerako mu Monitor FM n’oluvannyuma wano ku Beat FM waawummulidde.

Khasadha ategeezezza nti wabula Radio ez’ebiseera ebyo bwozigeraageranya n’ez’ebiseera bino enjawulo nnene nnyo ng’ennyimba tezaazannyirwanga ku Mayinja nga bweguli kati,Radio luli yabangamu okwogera kungi n’ennyimba ntono naye leero okwogera kwakendeezebwa abawuliriza bongere okunyumirwa ate n’okuweebwa obudde obumala babeeko bye bagamba okwo gattako okwongera okubakuumirako.

Khasadha agamba nti Radio emusobozesezza okusisinkana abantu be yali tasuubira kutuukirira,mu bano anokoddeyo Dr Stella Nyanzi n’Omugenzi SGT Kifulugunyu n’ategeeza nti Radio emusobozesa n’okukola obulango bwa Kkampuni ez’amanyi ne yeefunirangayo ka ssente ak’enjawulo.

Musajjamukulu ono agamba nti akaseera k’atalyerabira lwe lunaku lwayafuluma Studio ng’asuubira bamalirizza n’agenda wabula aba atuuka e Wandegeya baweereza banne ne bamukubira nga bamusaba akomewo bamalirize ppulogulaamu.

Ono agamba nti olulala lwatalyerabira lwe lunaku lwebaakyaza Dr Stella Nyanzi amanyiddwa obulungi okumala gamokkola gagambo nga bwayagala,ategeezezza nti ono yabatambuliza ku bunkenke ng’engalo ziri ku kyuma ssikulwa amegguzaawo eggambo nga tebamuggye ku mpewo.

Mu birala Byakika byayogeddeko ebimuzitoowereddemu ekiseera kyamaze ng’aweereza ku makya kwe kukeeranga ennyo ku mulimu ng’oluusi awulira ng’omutwe ogutasituka ssaako okukeeranga okwebaka asobola okuzuukuka ku makya nga takaluubiriziddwa.

Nga tumaliriza emboozi yaffe naye,Byakika ategeezezza nti annyuse mumativu era nga teyeevuma mulimu guno gwakoledde ekiseera ng’asuubira okubeera obulungi nate awamu ne batabanibe ekiseera ekiwerako.

Ono atutegeezeza nti agenze mu kyalo Luuka gyalimira Emicungwa ng’ayagala agyongere obudde nga bwakola n’emirala ng’omusajja yenna bwaba.

[fbcomments data-width="100%"]