tire kenden

KASIIMA ALABUDDE KU MIPIIRA GY’EMMOTOKA EGIYISEEKO

Poliisi erabudde bannannyini bidduka n’abagoba baabyo okwetegerezanga ennyo emipiira gyebabigulira baleme kubyambazanga giyiseeko kubanga ye nnabe omu ku asinga okuvaako obubenje bw’okunguudo obutakya era obumazeewo bannayuganda emipiira gino bwegyabika olw’obukadde.

Bwayogeddeko eri bannamawulire wano mu Kampala,aduumira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Steven Kasiima ategeezezza nti obubenje bungi buzze bugwawo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nebusanyawo n’obulamu bwa bannayuganda ng’entabwe eva ku mipiira gyayitako okwabikira ku nguudo.

Kasiima agambye nti emipiira nga gino mu maduuka gitunula nga miramunnyo wabula ekiseera kyegyakolerwa kibeera kiweddeko newankubadde nga giba tegisibwangako ku mmotoka yonna bwatyo n’abasaba bagisomengako nga tebannagigula.

Ono era alabudde abeettanira okugula emipiira emifumbe okuva ewa Kisekka nti nagino nnabe yennyini era kalunsambulira avaako obubenje.Kasiima era ategeezezza nti poliisi yakunganya Obukadde 120 ng’ennaku z’omwezi 1st omwaka guno okuva mu bikwekweto ebyakazibwako ebya Kawunyemu byebayiwa mu kibuga Kampala n’emiriraano nga bayita mu kubawa ebibaluwa eby’embagirawo n’okusingira ddala abaasangibwa bavuga nga bagangayidde n’abataalina bbaluuwa zibakkiriza kuvuga ezimanyiddwa nga Permit.

[fbcomments data-width="100%"]