nakuru

JENNIFER MUSISI ASABUUKULUDDE EBBINU LYA KAMPALA

Ssenkulu w’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala Jenniffer Musisi Ssemakula atongozza entujjo ya Kampala ey’omulundi ogw’omusanvu mwebaagala okukunganya Akawumbi akalamba n’Obukadde olwenda zaayagala okweyambisa mu kuzimba n’okuddaabiriza amasomero ga Kampala agatali mu mbeera nnungi.

Jeniffer Musisi ategeezezza nti amasomero agawerera ddala 79 ge gatunuuliddwa mu nteekateeka eno mu kaweefube agendereddwamu okulongoosa eby’ensoma by’abaana abali eyo mu 8000 abagasomeramu.Ono agamba nti baagala bagazimbeko ebikomera,bongere ku bibiina,amayumba g’abasomesa mugo n’ebirala.Entujjo eno yaakuberawo okuva nga 5th okutuusa nga 7th omwezi ogw’ekkumi omwaka guno.

[fbcomments data-width="100%"]