besigye

FDC ewera , twagala ntebe

Bya Moses Kidandi
Bannakibiina kya FDC batenderezza ekibiina kyabwe kati ekiwezezza emyaka 15 bukyanga kitandikibwawo.Ababaka mu Tteeserezo ly’eggwanga bannakibiina kino beerayiridde okwongera okukitwala mu maaso okutuusa nga kikutte Enkasi y’eggwanga.

Ekibiina kino ekyatandikibwawo abantu abasatu okwali Ret Col Dr Kiiza Besigye,Chapa Karuhanga ne Augustine Ruzindana kivuganyizza ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga emirundi egiweze ng’entebe bagikiremeza watono ddala Omuganda weyagereesa awaalema Ekkere okubuuka.

Ret Col Dr Kiiza Besigye asinzidde mu nteekateeka yeemu ne yeerayirira obutalituula ntende okutuusa ng’obukulembeze bw’eggwanga bulungamiziddwa ku lw’emirembe eri bannayuganda awamu n’okweyagalira mu nsi yaabwe.

[fbcomments data-width="100%"]