polio

ENKUBA EREMESEZZA ABASAWO ABAGEMA POLIO

Kaweefube w’okugemesa abaana abali wansi w’emyaka etaano ekirwadde kya Polio Kagongobaza okugenda mu maaso mu ggwanga kukyatambudde bulungi ennaku ezisoose ebbiri.Bwayogeddeko ne Beat FM Ekintabuli ky’omuziki,Ssekamwa waministry y’eby’obulamu Rukia Nakamatte Mbaziira ategeezezza nti abazadde babadde bajjumbidde okugemesa abaana baabwe era n’asaba ababadde batannabagemesa bakkirize bagemesebwe ss’era n’agumya na’abatannalaba basawo nti essaawa yonna olwa leero baaakutuukibwako engeri enteekateeka eno gyekomekkerezebwa olwa leero.

Nakamatte agambye nti abazadde kababeere ng’abaana baabwe baagemesebwadda polio basaanidde baddemu bagemesebwe.Enteekateeka yatandika lwamukaaga mu ggandaalo lyetumazeeko nga yaakutambuzibwa okumala ennaku ssatu ng’ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna ekya World Health Organization,UNICEF n’abagabirizi abala ab’eby’obulamu nga bakulembeddwamu ministry y’eby’obulamu be bagiwomyemu omutwe.Wabula waliwo ebitundu ebiwerera ddala ng’abazadde baayo tebannalaba ku basawo bagema baana kirwadde kino weewaawo ng’abasinga babadde balinze.Olunaku lw’eggulo bangi ku basawo bano baatataaganyiziddwa nnamutikwa w’enkuba eyatonnye mu district eziwerera ddala mu masekkati g’eggwanga era nga leero lwebasuubirwa okutambula ssinga eba tebataataaganyizza.

[fbcomments data-width="100%"]