katonda

Ekkanisa y’eyeeyita Katonda eggaddwa

Omubaka wa Gov’t mu district ye Kamwenge Geoffrey Mucunguzi era nga y’akulira akakiiko k’eby’okwerinda eruuyi eyo azzeemu nate n’aweereza Bakuyit’embuga eri omusajja Emmanuel Niwagaba eyeerangirira ku bwa Katonda gyebuvuddeko.

Omusajja oyo nga musumba wa kkanisa y’abalokole yalabwa bweyeerangirira nga bwali Katonda omulamu yekka era nga bwakola eby’amagero ebitaliiko ggemo n’alagira n’abagoberezibe bonna okusabiranga mu ngoye eza langi ya kyenvu yokka nga bwali Katonda ataddibwamu era ne kikolwa.Ono nga ye nnannyini Kkanisa eya Emmanuel Ministries e Kamwenge kitegeezeddwa takkiriza musabi ayambadde langi ndala yonna kuyingira kkanisaye.

[fbcomments data-width="100%"]