NATIONAL MEDIACAL STORES

EKITONGOLE EKITERESI KY’EDDAGALA SSI KISANYUFU OLWA KCCA OKULITUNDA

Ekitongole kya Gov’t eky’eby’eddagala ekiteresi ekya National Medical Stores kivuddeyo nekinenya kinnakyo ekya KCCA olw’okugwa ku bannayuganda abawi b’omusolo ate nekibaguzanga eddagala eryeyambisibwa mu kugema omusujja gw’enkaka ogumanyiddwanga Yellow Fever eryasasulirwa edda.

Kinajjukirwa nti bannayuganda abalina enteekateeka z’okugenda ebunaayira kibakakatako okusooka okwegemesa ekirwadde kino nga tebannakkirizibwa kufuluma ggwanga ng’enteekateeka bweri nga bano KCCA beebaddenga eggyako ensimbi eziwerera ddala emitwalo kkumi kkumi buli omu ekitasaanidde.

Ssekamwa w’ekitongole kino eky’ebyeddagala Dan Kimosho ategeezezza nti aba KCCA tebateekeddwa kuggya nsimbi ku bantu bano kubanga ssente z’eddagala lino zaateekebwa mu mbalirira y’eddwaliro lino erye Kiruddu.

 

[fbcomments data-width="100%"]