ntv

EBYA NTV NE KAKUYEGE WA MUSEVENI BIRANZE

Telefayina ya NTV esibiddwako ebyayo n’egaanibwa okuddamu nate okukwata amawulire ga Kakuyege wa Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni lwabigambibwa nti erabika erina ekkobaane n’abataagalira ddala Kabwejungira okutuusa ng’eddiddwamu ssinakindi ng’etereezezza mu nkola yaayo mu kiseera kino ekya Kakuyege.

Akulira Kakuyege wa Yoweri Kaguta Museveni, Mike Ssebalu ategeezezza nti abasasi b’amawulire mu Telefayina eno baaganye okukkiriza ebifananyi ebibadde bibaweebwa bannamawulire b’enkambi ya Kakuyege wa  Museveni ebiraga obulungi obuganzi omuntu waabwe bwalina mu bantu nebasalawo okukozesanga ebyabwe byebeekwatira mu ngeri etali nnungamu era ebiragira ddala omuntu waabwe nti ayenjebuse mu buwagizi ne mu buganzi mu bannansi ekintu bano kyebagamba nti kiba kibi eri omuntu waabwe naddala mu kaseera nga kano aka kanaayokyani.

[fbcomments data-width="100%"]