bobi

Ebya Bobi Wine bya leero mu paalament ya Bungereza

Omubaka mu Tteeserezo lya Bungereza Paul Williams ategeezezza nti akawungeezi ka leero bagenda kukubaganya ebirowoozo ku Demokulaasiya wa wano nga bwe bagaayagaaya mu nsonga z’obukambwe obwayolesebwa mu kukwatibwa kw’ababaka mu lukiiko lwa wano mu bitundu bya Arua okuli ne Robert Kyagulanyi.

Paul Williams ye mubaka eyatwala ensonga eno mu tteeserezo eryo omwaka oguwedde ng’asonga ku ngeri ababaka bano gye baakwatibwamu awamu n’abawagizi baabwe.

[fbcomments data-width="100%"]