resolution

EBINTU BITAANO BYEWEEKWATA OKUTUUKIRIZA EKIROOTO KY’OMWAKA

Bangi ku ffe tutera okubeera n’entuumu y’ebintu byetwegomba okukola n’okutuukiriza ssonga mazima ddala byetooloolera ku nneyisa zaffe.Bingi ku bino oluusi bitulemerera okutuukiriza olw’enneeyisa zaffe,wabula weetegereze engeri gyoyinza okwekyusa wennyini n’otuukiriza ebirootobyo;

1.Beera ku nsonga kwennyini(Teweetooloola)

Bwekuba ku bya kulya tunuulira nsonga sso ssi bika bya mmere byoayagala kulya.Manya nti ku ky’enkya ndya kino,ekyemisana kino wabula weewalennyo okulya emmere etatuukiridde,weefumbirenga gyeweekakasa era weewale okunywanga soda awoomerera ennyo!

2 Kola obwa nnampala ku biruubirirwabyo

Tekiba kirungi kulekerera kyoyagala kutuukiriza,kiremengako okyetegereze era okirondoolenga kyamazima ddala ojja kukituusa gyokyagala.Buli lwokola ng’ogoberera kyokola omanya kyosobola n’ekituufu ky’oli oba kyotali ate mwanawattu n’oluvannyuma kino kikwetereereza kyennyini mu kkubo ettuufu erinaakuyamba okukituukiriza.Buli lwogoberera kyokola kikuwa muli obumativu mu mutima era n’okuwankawanka okwalikubaddemu ne kuzikirira.

3.Weekubengamu ekitangaaza ng’oymbwa abalala

Eno mpagi nkulunnyo,tegeeza ku balala kyowulira mu mutima ng’oyagala okukikola,tambula n’akusingako mu kyokola kikuyambe okwekebera mu busobozibwo,oba ssi ekyo funayo akubangula mukyo.

4.Wezzeemu amaanyi

Ng’oyagala ekiruubirirwakyo okutuukirira ggwe kennyini wezzeemu endasi ekitwala mu maaso.Bwetwezzaamu amaanyi twongera okugenda mu maaso awatali kuddirira.Buli lwetuwa emibiri gyaffe amaanyi tuba n’ebbeetu erigibuuza kyegitukoledde.

5.Weewale okutumereganya ebyetaagobyo

Bweweesanga ng’ovudde ku mulamwa gw’ebirootobyo olw’ebirala ng’ate nabyo obyetaaga,lwananga bwezizingirire olabe ng’odda mu kkubo ettuufu bwolemererwanga ggwe ng’omu funa omuntu omulala akuyambe okudda ku mulamwa.Nebwekiba kyetaagisa kukyusa mpisazo osobole okutuuka gyolaga,kikole.

[fbcomments data-width="100%"]