covid

E Luweero basattira, babiri basangiddwa n’obubonero bwa COVID19

Abataka mu kibuga Wobulenzi eky’omu district ye Luweero basabiddwa okugira nga babeera bakkakkamu wakati mu bweraliikirivu bwe baafunye obw’abantu abaasobye mu babiri abasangiddwa n’obubonero obwefananyiriza ddala n’obw’ekirwadde ki Lumalabantu ekya COVID 19 nga n’omu kubo yabadde yaakadda okuva mu ggwanga lya Oman gyabadde yagenda okuwenja Lupiiya.

Tutegeezeddwa nti bano kwategeerekeseeko Mwesigye Fred ow’emyaka amakumi 23 omutuuze ku kyalo Ssikannusu mu Town Council ye Wobulenzi ne Ndagire Faridah ow’emyaka 25 eyakomyewo mu ggwanga okuva ebunaayira ku lwa Ssabbiiti oluwedde nga 20th omwezi guno nga ssampulo z’omusaayi gwabwe zitwaliddwa mu kkeberero lya Gavumenti e Ntebe erya Uganda Virus Research Institute.

[fbcomments data-width="100%"]