nyanzi-granted-bail

DR STELLA NYANZI ATEEREDDWA

Omulamuzi James Eremye Mawanda owa kkooti ya Buganda Road wano mu Kampala ateewuluzza omukyala atasiba zikweya Dr Stella Nyanzi awerennemba n’egy’okuyita ku mikutu emiyungabantu n’amala amalako abantu abamu egya Nakakaawa nga ne Kabwejungira tamutalizza.

Dr Nyanzi ateereddwa ku kakalu ka kooti ka Bukadde 10 obw’obutaliiwo nga n’abamweyimiridde abataano balagiddwa buli omu okusasula akakalu ka Bukadde kkumi kkumi era obw’obutaliiwo.Omulamuzi Eremye Mawanda alagidde Dr Stella Nyanzi n’abamweyimiridde nti tebasaanidde kwogera kana na kataano ka musango guno mu mawulire.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

 

 

[fbcomments data-width="100%"]