KHASADHA BYAKIKA Y’ANI?

Khasadha Byakika ge mannya Ebony Waiswa g’abaddenga akozesa ku mpewo ey’awummudde egy’obuweereza bw’oku mpewo bwamazeemu emyaka amakumi 20 ng’ono yeegatta ku lulyo lwa Beat FM mu mwaka gwa 2007.

Ono y’omu ku bakozi abaludde ku Radio eweerereza mu Luganda naye ng’anyumirwa nnyo okuweerereza mu lulimirwe oluzaaliranwa Olusoga.

Nga weetegerezza bulungi musajjamukulu ono afaanana muntu atali mwangu wa kuggya bigambo wabula bw’omusemberera kituufu aseetula emboozi wammaggwe n’egwa amakerenda.

Khasadha agamba nti ajjukira omulundigwe ogwasooka ku mpewo za Radio eyayitibwanga Green FM kweyawalirizibwa obuwalirizibwa okuweereza nnyiniyo Omugenzi Jerry Wampamba(Mukama amuwummuze mirembe)

Ku mpewo za Radio eno Musajjamukulu ono atutegeezezza nti yaweererezangako bwereere awatali mpeera yonna wabula nga musanyufu olw’obulamu obupya bweyali atandise.Byakika atutegeezezza nti mu mwaka nga gumu yali aliko byagenze ayiga nga n’ebyuma ebimu asobole okubyebeereramu yekka n’aweereza,eyo gye yava ne yeegatta ku Radio eyayitibwanga Greater African Radio eyabeeranga e Kamwokya gyeyasasulwanga Emitwalo etaano egya ssente za wano buli mwezi ng’eyo bweyavaayo n’akolerako mu Monitor FM n’oluvannyuma wano ku Beat FM waawummulidde.

Khasadha ategeezezza nti wabula Radio ez’ebiseera ebyo bwozigeraageranya n’ez’ebiseera bino enjawulo nnene nnyo ng’ennyimba tezaazannyirwanga ku Mayinja nga bweguli kati,Radio luli yabangamu okwogera kungi n’ennyimba ntono naye leero okwogera kwakendeezebwa abawuliriza bongere okunyumirwa ate n’okuweebwa obudde obumala babeeko bye bagamba okwo gattako okwongera okubakuumirako.

Khasadha agamba nti Radio emusobozesezza okusisinkana abantu be yali tasuubira kutuukirira,mu bano anokoddeyo Dr Stella Nyanzi n’Omugenzi SGT Kifulugunyu n’ategeeza nti Radio emusobozesa n’okukola obulango bwa Kkampuni ez’amanyi ne yeefunirangayo ka ssente ak’enjawulo.

Musajjamukulu ono agamba nti akaseera k’atalyerabira lwe lunaku lwayafuluma Studio ng’asuubira bamalirizza n’agenda wabula aba atuuka e Wandegeya baweereza banne ne bamukubira nga bamusaba akomewo bamalirize ppulogulaamu.

Ono agamba nti olulala lwatalyerabira lwe lunaku lwebaakyaza Dr Stella Nyanzi amanyiddwa obulungi okumala gamokkola gagambo nga bwayagala,ategeezezza nti ono yabatambuliza ku bunkenke ng’engalo ziri ku kyuma ssikulwa amegguzaawo eggambo nga tebamuggye ku mpewo.

Mu birala Byakika byayogeddeko ebimuzitoowereddemu ekiseera kyamaze ng’aweereza ku makya kwe kukeeranga ennyo ku mulimu ng’oluusi awulira ng’omutwe ogutasituka ssaako okukeeranga okwebaka asobola okuzuukuka ku makya nga takaluubiriziddwa.

Nga tumaliriza emboozi yaffe naye,Byakika ategeezezza nti annyuse mumativu era nga teyeevuma mulimu guno gwakoledde ekiseera ng’asuubira okubeera obulungi nate awamu ne batabanibe ekiseera ekiwerako.

Ono atutegeezeza nti agenze mu kyalo Luuka gyalimira Emicungwa ng’ayagala agyongere obudde nga bwakola n’emirala ng’omusajja yenna bwaba.

ABASUMBA ABALIMBA OKUWONYA ENDWADDE BALABUDDWA

Gov’t erabudde bannaddiini n’okusingira ddala ab’enzikiriza y’abalokole abagenda balimbalimba abantu n’amazzi g’ensulo gebayita ag’emikisa okwo gattako emmere gyebaakazaako Holly Food mbu bisobola okubawonya ebirwadde.

Bino byogeddwa Minister w’eby’amateeka n’ensonga za Ssemateeka w’eggwanga Kahinda Otafiire bw’abadde aggulawo omusomo ogukwata ku bwannannyini ogutegekeddwa aba Registration Services Bereau n’agamba nti bannaddiini bano tebasaanidde kuwabya bantu.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo Credit: CampusBee

ABALINA OBULWADDE OBUTAWONA BAKUBIRIZIDDWA

Abalwadde b’ebirwadde eby’obulamu ebitawona bakubiriziddwa obutakoowanga kuwuliziganya ne bannaabwe bwebatawanyizibwa ebirwadde ebifaanagana kibayambenga okuwanyisiganya amagezi mu by’okwejjanjabisa n’okwerabirira basobole okuwangaala.

Ng’eggwanga lyeteekerateekera olunaku olw’enkya okwegatta ku mawanga amalala okukuza olunaku lw’ensisinkano y’abalwadde olumanyiddwanga Patient Solidarity Day olutegekeddwa ku ddwaliro lya Kalagala Health Centre III mu Luweero,akulira ekitongole ekitaba ebibiina by’abalwadde ab’ebirwadde eby’olukonvuba byonna mu ggwanga ekya Uganda Association of Patients Organizations UAPO Regina Namata Kamoga ategeezezza nti ebirwadde ebimu ssibyangu kujjanjabira mu bwannamunigina nga towuliziganyizza na banno.

Ono atutegeezezza nti bakwataganidde wamu ne ministry y’eby’obulamu,World Health Organization,UAPO,kampuni enkozi z’eddagala ez’enjawulo basobole okuwa abalwadde bonna abanajja obujjanjabi obwetaagisa awamu n’okubudaabudibwa.

Namata ategeezezza nti abatawanyizibwa obulwadde bwonna baakukolwako enkya sso ssi balukonvuba bokka.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: International Alliance of Patients’ Organizations

 

UPDF ESAMBAZZE EBY’EMMUNDU EZ’EBIKWANGALA  

Eggye ly’eggwanga erya UPDF lisambazze ebibadde bitandise obungeesebwa nti abanene mulyo beevumbye akafubo mu ggandaalo eriyise nebabaako eby’ensonga byebamuumunyamu okuli n’okusonga ennwe mu muduumizi waalyo ow’amagye ag’okuttaka Brig Leopold Kyanda.

Ssekamwa w’eggye lino Lt Col Paddy Ankunda ategeezezza nti mpaawo mbeera yonna erimu nteekateeka ya mmundu ngingirire yaababaddemu egambibwa mbu enonyerezebwako Col Mbonye n’abanene mu bwambega mulyo.

Photo: Red Pepper Uganda

OBUKADDE 69 BWABULIRA E LUWEERO MU BASOMESA AB’EMPEWO

Obukadde bw’ensimbi za wano 69 beddu bwebwasasulwa abasomesa ab’empewo mu myaka gy’eby’ensimbi 2013/2014 ne 2014/2015 mu masomero ga Gov’t ag’enjawulo mu district ye Luweero.

Alipoota efulumiziddwa akakiiko k’eby’ensimbi z’omuwi w’omusolo mu district eno eraze nti amasomero 12 galemereddwa okuwa ensaasaanya y’obukadde bw’ensimbi amakumi 42 obwabaweebwa wansi w’enteekateeka ya Bonnabasome mu masomero ga Primary ne secondary mu myaka egyo.

Ssentebe w’akakiiko kano Umar Musoke Maalo ategeezezza nti nabo basobeddwa eka ne mu kibira olw’ensimbi zino enkumu ezitamanyiddwako mayitire ssong’eby’enjigiriza eruuyi eno buli lukya byongera kufeeba newankubaddenga bipokerwamu ensimbi empitirivu.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

Photo: watchdog.org

NRM EWANGULIDDE WAGGULU MU KULONDA KWAJJO

Bannakibiina kya NRM beeriisirizza nkuuli mu kalulu akaakubiddwa olunaku lw’eggulo mu district empya ng’ebifo ebisinga be baabiwangudde.Catherine Lamwaka y’alangiriddwa ku kifo ky’omubaka omukyala owa district ya Omoro sso ku bwa Ssentebe bwayo Dauglous Okello ataabaddeko kibiina kimufuzzeeko ddusu n’awangula entebe y’obwa Ssentebe.E Kakumiro munna NRM Sentaayi y’alangiriddwa ku buwanguzi ate e Rubanda Akampulira Mbabazi Prossy era munna NRM naye n’alangirirwa ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka omukyala nga banne bwebabadde mu lwokano abakubizza kaga bwakukumbye obululu emitwalo 32706 n’addirirwa eyajjidde ku bwannamunigina Kebirungi Hilda n’obululu omutwalo 19486 ne munnaabwe Katushabe Vastine munna FDC n’akoobera n’obululu enkumi 3479.

E Rubanda alangiriddwa ku bwa Ssentebe bwa district ye Jogo Kenneth eyajjidde ku kaada y’ekibiina ekigolomola eggwanga lino.Abawanguzi mu district zino balangiriddwa mu kiro ekikeesezza olwa leero ng’ebirala nga bwebikyajja tuli baakubibatuusaako nga bannamawulire baffe bwebabituweereza.

 

OMULAMAZI OW’EMYAKA 97 ASUZE NNAMUGONGO

Mu bibinja by’abalamazi enkumi n’enkumi ebiri mu makubo ne mwasanjala zonna mu ggwanga nga batambula beeyuna ekiggwa ky’abajulizi ba Uganda e Namugongo kwegattiddwako bannaabwe abalala amakumi 27 abasimbudde ku kigo kya St Kaggwa e Bushenyi nebayeekera engere nga wetwogerera baluubirira kutuuka Biharwe mu Mbarara.

Omu ku balamazi bano gwetwogeddeko naye Bangirana Richard atutegeezezza nti baakutambula misana na kiro ate mu bwangu balabe ng’olunaku lw’abajulizi lubasanga bataka e Namugongo.Ono agamba nti mu kibinja kyabwe abasingamu obukulu atemera mu myaka egy’obukulu kinaana.

Bo bannaabwe era abaasimbula okuva ku kigo kye kimu gyebuvuddeko era betuzze tutambula nabo bataka mu Kampala nga wetwogereddeko nabo babadde ku kiggwa kya Mujulizi Balikuddembe wano wansi mu Owino webayitidde basabe ku mujulizi ono nga bagamba nti leero balina obukakafu nga baakusula ku kiggwa Namugongo k’etonnye ka gwake.

Mu bano twogedde ne Kaamasanyu Hellen. Kaamasanyu atutegeezezza nti Nnamukadde Berenaado Tiibyange ow’emyaka 97 gwebaasimbula naye e Bushenyi akyali mumbeera nnungi nti era musanyufu okulaba nga leero waakusula mu kiggwa kya Bajulizi e Namugongo.


PHOTO: www.monitor.co.ug

EBY’ENJIGIRIZA BIFUULIDDWA BYA BUFUZI

Omu ku babaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu omusomesa omutendeke Joseph Gonzaga Ssewungu avuddeyo n’anenya Gov’t eramula kuno olw’omutindo gw’eby’enjigiriza ogugenda gusereba buli lukya nga kalunsambulira ava ku kufuula buli kintu byabufuzi.

Ssewungu abadde ayanukula ku alipoota eyakoleddwa ekitongole ekinonyereza ku by’enjigiriza ekya UWEZO ekyalaze ng’abaana b’eggwanga ebitundu amakumi 42% bokka nti be basobola okusoma bwino  n’okubala bwobageraageranya ne bannaabwe ebitundu 70% aba Kenya n’amakumi 55% aba Tanzania abalina obusobozi bwebumu.

Ssewungu agamba nti Gov’t eragajjaliddennyo eby’enjigiriza n’amasomero gaayo eby’enjigiriza n’ebirekera banneekoleragyange abatandise amasomero g’obwannanyini.


PHOTO: www.bukedde.co.ug

ETTEMU E NAKASEKE LIBALEMESEZZA OTULO

Abataka ku kyalo Mijumwa ekisangibwa mu ggombolola ye Wakyato mu district ye Nakaseke emitima gibakubira ku mitwe ng’eyabuulira ow’olugambo olwa batuuze bannaabwe abazze bababulako oluvannyuma be baazudde nga waliwo farm emu mu kitundu kyabwe gyebazze battirwa nebaziikwa oluvannyuma lw’okubalembekamu omusaayi.

Bwayogeddeko n’omusasi waffe,omu ku bataka abasobeddwa eka ne mu kibira Naabagereka Faridah omutuuze we Mijumwa mu Nakaseke agamba nti abatemu bali ku farm ya mwami Ddungu ebiro bino ali ebunaayira ng’abamu ku ba maneja beyalekako yaapangisa abantu batte abantu ano bebakuba obukumbi n’oluvannyuma nebabaziika mu farm yeemu ng’akyasembyeyo ye Ssentongo eyabula mu by’olusaago ng’abatuuze okulaba omulambogwe waliwo omuti gwebaasaze ku farm eno wabula mu kugwa amatabi gaagwo negaziikula omufu abadde yaakaziikibwa ennaku ntono ddala nga yatemerwako ekikata nebakibyalako n’amalagala.

Farm eno Nabagereka agamba erimwako kasooli,eriko ente n’abantu bapangisaako okutemamu Amanda ng’abasinga ku bazze battibwa babadde boolyamu manda.Ono agamba nti weewaawo bazze bategeeza poliisi ensonga tennazitwala nga nkulu kubanga abtemu bakyakunnumba bute.


PHOTO: minbane.wordpress.com

EBYA SSETTENDEKERO WA SOROTI BIKYALI BIWANVU

Okuggulawo kwa Ssettendekero wa Soroti okubadde kusuubirwa mu mwezi ogwa Muwakanya Ogw’omunaana omwaka guno kwandikwatirwa olukato nekuwummulwa oluvannyuma lw’abakungu abali emabega w’enteekateeka eno bennyini obutassa kimu.

Minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo Jessica Alupo agamba nti Ssettendekero yaalibadde eggulawo n’abayizi abasooka mu mwezi gw’omunaana omwaka guno Ssentebe w’olukiiko olugiteekateeka kyawakanya bwagambye nti kino tekijja kusoboka kubanga Ssettendekero eno tennafuna buli kimu ekyetaagisa ng’embeera eno tegenda kusobozesa baana ba ggwanga kusoma bulungi.

Kinajjukirwa nti abakungu bano abali emabega w’okutandika Ssettendekero ono owa Soroti University baali bakkanya nti baakuggulawo mu mwezi gw’omunaana nga wabula bwebeetegerezza embeera nga bweri okuggulawo abasing bakuwakanya weewaawo nga minister Jessica Alupo agamba nti embeera nebweba etya baalitandise.

Gwo omwezi oguwedde akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku by’enjigiriza mu ggwanga kaakyalira Ssettendekero ono nebategeeza nti enteekateeka z’okugiggulawo basaanidde bazongereyo tennatuukana na mutindo.


PHOTO: acholitimes.com