Agaanye bba okutunda ppoloti asasule bbanja ne yeetuga

Nnamwandu w’omusajja ow’emyaka amakumi 56 eyeetuze olw’ebbanja ery’emitwalo amakumi ataano ategeerekese nga Nyiraguhirwa Ancilla ,awakanyizza ebyogeddwa nti bba yeetuze lwakumulemesa kutunda katundu ku ppolotiye e Kisoro asasule ebbanja erimubadde mu bulago.

Omulambo gwa musajjamukulu Pereza Ponsiano abadde omutuuze ku kyalo Kabaya mu district eye Kisoro gusangiddwa gulengejjera ku muti gwa Woovakkedo emmanju w’enjuuye nga Ssekamwa wa poliisi eruuyi eyo Elly Maate agamba nti musajjamukulu oyo yeeyambisizza katimba ka nsiri buno obwagabwa ne yeggya mu bulamu.Baliraanwa baabwe bategeezezza nti ono abadde n’ebbanja lya ka SACCO ak’omu kitundu lya mitwalo ataano atenga mukyalawe amuganye okusala ku kafo kaabwe yeetaase.

Omukulu w’essomero asobezza ku we 15 akwatiddwa

Poliisi ye Semuto mu Nakaseke ekutte omukulu w’essomero lya Gov’t agambibwa okutuuza kaanakawala akabadde kasoma eky’okutaano ku Ssessiriiza.Ono ategeerekesenga Kayondo Claudio mutuuze ku kyalo Miginje eky’omu Muluka gwe Miginje mu ggombolola ye Semuto e Nakaseke ng’abadde mukulu wa ssomero lya St Denis Kijaguzo PS okumala ekiseera wabula n’akyusibwa n’addizibwa mu bitundu bye Ngoma era mu Nakaseke.

Omu ku batuuze abakulembeddemu enteekateeka z’okuwenja n’okukwata omusajja ono Nnakyewa mu nsonga z’eby’abaana n’amaka omu ku baabangulibwa ekibiina ky’obwannakyewa ekya CORDI Maayimuuna Sserunjogi amanyiddwa nga Maama Sseeki atutegeezezza nti Kayondo akwatiddwa bwabadde agenze ewaabwe w’omuwala yeegayirire bazaddebe babeeko engeri gyebakwataganya ensonga baleme kuzitwala mu ba buyinza.Ono agamba nti akwatiddwa ku kyalo Makaayi era ekisangibwa mu kitundu kye kimu awali n’ennimimiroye gyeyakwatidde omwana ng’amulimbalimba emiyembe egyabaddeyo.

Akalulu ka 2021 kagenze ku mitimbagano, teri kakuyege

Enkungaana za Kakuyege eri baneesimbawo ku bifo eby’enjawulo mu kalulu akalindwa omwaka ogujja 2021 ziggyiddwawo olw’ekirwadde ekyatuzinda.Bwabadde afulumya nnamutayiika w’enteekateeka z’akalulu akabadde katandise okwogeza bannayuganda ebikankana,Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda Simon Byabakama ategeezezza nti okusinziira ku biragiro ebizzenga biyisibwa ministry y’eby’obulamu mu kutangira ensaasaana y’ekirwadde kya COVID 19 bannayuganda baawerwa okuddamu okukungananga ate n’okuliraananga mu bifo eby’olukale ekimu ku biragiro bye batayinza kuyisaamu maaso.

Byabakama ategeezezza nti enteekateeka za kalulu kano zitandika n’omwezi guno mwetuli ogw’omukaaga okutuusa mu gw’okubiri omwaka ogujja 2021 okulonda kwonna lwekunaabaawo.Abaneegwanyiza okukiikirira ebitundu eby’enjawulo mu Tteeserezo ly’eggwanga ne Gov’t ez’ebitundu baakusunsulwa wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ogw’ekkumi omwaka guno,mu gw’omwenda abaneegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga basunsulwe ate kakuyege waabwe bonna abeere wakati w’ennaku z’omwezi 20th ogw’ekkumi okutuusa nga 8th omwezi ogw’olubereberye omwaka ogujja 2021 olwo okulonda kubeerewo wakati w’ennaku z’omwezi 10th ogw’olubereberye okutuusa nga 8th ogw’okubiri.

Ebikajjo bisse babiri

Poliisi ye Lugazi etandikiddewo okunonyereza ku kituufu ekiyinza okuba nga kye kivuddeko akabenje akafiiriddemu abantu babairi mu Mabira ku mwasanjala wa Kampala-Jinja enkya ya leero mmotoka y’ekika kya Harrier bweyingiridde bwenyi ku bwenyi Fuso ebadde ekubyeko ennyanya ezigambibwa okuba nga zibadde zitwalibwa Kenya.

Aduumira poliisi y’ebidduka mu ttundutundu eryetoolodde omugga Ssezzibwa Israel Wambesyo ategeezezza nti omugoba wa mmotoka ya Harrier etabaddeeko Number ebadde egezaako kuyisa ntuumu ya bikajjo ebibadde biyiise wakati mu kkubo mu butanwa n’eyingirira Fuso y’ennyanya ebadde edda e Kisumu mu Kenya.Wambesyo agambye nti abafudde ye Shariff Musenero abadde avuga Harrier ne Nakakande Samalie owe Busunju ng’emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Lugazi.

Ssemaka yeetuze lwa nnusu 1000 ez’omunnyo

Abatuuze ku kyalo Nyakabungo ekisangibwa mu Muluka gwe Rwene eky’omu ggombolola ye Buhara mu Kabale bazikubyemu makiikakiika mutuuze munnaabwe bweyeeyimbyemu omuguwa ne yetta bwalemereddwa okufuna shilling 1000 agulire ab’omu makaage ekitundu kya kkilo y’omunnyo.

Abatuuze ku kyalo kino bategeezezza nti munnaabwe ategeerekesenga Denis Micheal Owamani yafunyemu obutakkanya ne mukyalawe obwavudde ku kulemererwa okubagulira omunnyo ogw’okussa mu nva mukyalawe ng’amulangira nga bwatakyali musajja kimala bwaba tasobola kubagulira munnyo ogwa shilling 1000 lwokka.

Ssekamwa wa poliisi eruuyi eyo Elly Maate ategeezezza nti omusajja ono alabirizza mukyalawe ng’avuddeko awaka ne yeetugira ku mulabba mu ddiiro ly’ennyumba yaabwe.

Abagoba ba taxi ne bodaboda bagumiziddwa ku kya ppaaka enkadde

Eyagira ng’atuuziddwa mu ntebe ya Ssenkulu w’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala Yinginiya Andrew Kitaka asabye abagoba ba Taxi n’aba Boda Boda obutawuliriza bibungeesebwa ba mimwa mpewere ku nteekateeka z’okuddaabiriza ppaaka ya taxi enkadde nga bwekugendereddwamu okubasindiikiriza n’okubagobera ddala mu kibuga Kampala.Yinginiya Kitaka agambye nti baasalawo enteekateeka eno eggyibweko Akawuuwo ng’eggwanga likyali mu kituulawaka kikendeeze ku ntataaganya ezzenga ebaawo buli lwewabaawo okuddaabiriza n’okulongoosa ng’eno abantu bwe bakola egyabwe.

Ono agambye nti enteekateeka ya bulungi bwa buli muntu eyeeyambisa entambula ey’olukale ng’omulimu bwegunaggwa bonna ababaddenga bagikoleramu baakukkirizibwa okuddamu bakakkalabye.Kinajjukirwa nti poliisi olwajjo yayungudde basajja baayo abawerako n’ebayiwa mu ppaaka eno mu kugezaako okulemesa abagoba ba taxi abaabadde baagala okusimbira omulimu ekkuuli.

Tumukunde alya butaala, yeeyimiriddwa obukadde 50

Munnamagye eyagannyuka eyeevaamu ng’enkoko emira Ensanafu n’atunuulira entebe ennene mu ggwanga n’eriiso erigyegomba Lt Gen Henry Tumukunde ddaaki ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka Bukadde amakumi ataano obutabadde bwa buliwo bwakkiriziddwa okweyimirirwa.

Tumunde ng’ayimbuddwa omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Kwesiga abadde mu Kawome e Luzira okuva nga 18th omwezi ogw’okusatu omwaka guno kkooti ekkirizza n’eddamu okwetegereza ku bukwakkulizo bweyali ateereddwawo jjuuzi lweyasembayo okuleetebwa.

Omulamuzi Kwesiga akkirizza abamweyimiridde okubadde mukyalawe Stella Tumunde,mukoddomiwe Hannington Karuhanga ne mukwano gwabwe Mathew Rukikaire.Tumukunde yakwatibwa gyebuvuddeko n’alangwa ogw’okusangwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka.

Ekitongole ky’eby’omutindo kivuluze emmere egabwa

Ebitundu amakumi 28% eby’obuwunga n’amakumi 27% eby’ebijanjaalo ebibadde bigabirwako bannayuganda mu nteekateeka z’okuduukirirwa n’eky’okulya mu kiseera kino eky’ekituulawaka ekyafuuse Lutaakome bano bazzukulu ba Kayiira Gaajuule e Mugulu mu Ssingo,tebituukanye na mutindo gwa kuliisibwa bantu.

Kino kyatuddwa akulira ekitongole ky’eby’omutindo mu ggwanga ekya National Bereau of Standards Ben Manyindo bw’abadde akwasa abakungu b’akakiiko akaakwasibwa ogw’okulwanyisa embeera y’ekirwadde kino mu ggwanga Obukadde bwa ssente za kuno amakumi 20 obusondeddwa mu bakkozi b’ekitongole ekyo.Manyindo ategeezezza nti ku kkilo z’ebijanjaalo ezigobereza Obukadde Obuna ze baakeekebejja ebitundu 73% bye byokka ebituukanye n’omutindo ng’ate ez’obuwunga kkilo Obukadde omukaaga bwe baakeekebejja ebitundu 74% bwe bwokka obusaana okuliisibwa abantu.

Tumukunde asabye asibwe n’abasibe abalala

Munnamagye eyagannyuka Lt Gen Henry Tumukunde eyeevaamu ng’enkoko emira Ensanafu n’asonga ku ntebe ennene mu ggwanaga amale akwatibwe aggalirwe e Luzira alaze obwennyamivu ku ngeri gyakuumirwamu mu bwannamunigina mu Kawome gyali kyagambye nti kimumalirako ddala egya Nnakakaawa.Tumunde eyaggulwako ogw’okulya mu nsiiye olukwe n’okusangwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka aleeteddwa ku lutimbe mu nkola empya eyagunjibwawo mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City Hall Valeria Tuhimbise n’avumirira eky’okusibwa mu bwannamunigina gyoli ye musibe yekka ali e Luzira nti ate n’okummibwa olukusa olulaba abantube n’omusawowe kimumenya okukira eyeetisse Olubengo.

Mu birala byayogeddeko ebimunyiga Tumukunde agambye nti omuntu omulamu atakkirizibwa kukyusa ngoye ng’aleetebwa mu kkooti n’alabika nga bwazzenga alabika kikyamu nnyo era kirinnyirira eddembe erimuweebwa Ssemateeka.Omukulu ono alagiddwa addizibwe embuga nga 20th ppuliidawe n’aweebwa ga buwa addemu asabe olukusa olw’omuntuwe okweyimirirwa ensonga zitunulwemu nga 20th lwanaddizibwa.

Eyakulemberamu abeeyambulira CPS afiiride mu nju

Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku nfa y’omu ku bakyala ababadde batanyigirwa mu Nnoga Alimadi Ann Barbara abadde omukwanaganya w’ekibiina kya Alliance For National Transformation asangiddwa afiiridde mu nnyumbaye e Kiwaatule.Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategeezezza nti bategeezeddwa Wakibra Harry mu kiro ekikeesezza olwa leero ku ssaawa munaana ez’amattansejjere.

Ono ategeezezza nti baasindise basajja baabwe mu maka g’omuntu oyo balabe ekiyinza okubayamba mu kunonyereza okutandikiddewo ng’omulambogwe guleeteddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.Ono agambye nti omulambo gw’omukyala oyo gusangiddwa gwevuunise n’amagulu agataliimu kwefunya kwonna era nga tewabadde kabonero konna kalaga nti waabaddewo ensiitaano mu nfaaye.Omukyala ono ajjukirwa bulungi bweyakulemberamu bakyala banne abataweneenera mu nsonga ne balumba ekitebe kya poliisi ekya CPS nga balese amabeere ebweru ku lw’okukwata kwa munnaabwe Ingrid Turinawe.