winnie

Byanyima ayambalidde ab’eby’ obulamu eby’obuwanana

Ekitongole ky’ekibiina ky’amawangamagatte ekitunuulidde ensonga z’okulwanyisa n’okuziyiza ekirwadde kya Mukenenya kitegeezezza nti omuntu okuweebwa obujjanjabi obumusaanira tekuba kumuyamba wabula kimukakatako mu nsiiye.

Akulira omukago gw’ekitongole kino ekya UNAIDS Winnie Byanyima ategeezezza nti eby’obulamu bw’abantu bigenda biseebengerera naddala mu bantu abatali bulungi mu by’enfuna nga Nnabe asinga kuva ku bagabi ba byabujjanjabi ababutuusa ku babwetaaga ku bbeeyi ey’obuwanana ssong’abantu ebitundu amakumi 50% okwetooloola ensi baavu abatasobola kwetuusaako bya bujjanjabi bwe beetaaga.Byanyima ategeezezza nti abantu abakunuukiriza mu Bukadde 100 okwetooloola ensi baavu mpongabyoya abatasobola kwetuusaako bujjanjabi bwe beetaaga olw’obufunda bw’ensawo.

[fbcomments data-width="100%"]