Omuyimbi ow’erinnya Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobie Wine alaze obumalirivu mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East era ng’asuubirwa okusunsulwa essaawa yonna ng’enteekateeka z’akakiiko k’eby’okulonda bwezinaaba.
Kyagulanyi ategeezezza nti kino kye kiseera kyennyini kyateekeddwa okuviirayo abantube aba Kyaddondo East era ng’asuubira waakuyingira etteeserezo ly’eggwanga.
Kivvuunuddwa Charles Kizindo