Betty-Mpologoma

BETTY MPOLOGOMA ANONYA ANAAMUBIITA

Omuyimbi ow’erinnya Betty Mpologoma ddaaki amaliridde n’ayatula nti omukwano gumusuza bubi olw’okubulwa amubikka atenga n’abaalimweyunidde olw’endabikaye balowooza aliko amubiita kyagambye nti kimuyisizzaako abasajja bangi beyaaliwadde omukwano nebamutenda bweyatuukirira.Mwanamuwala ono ategeezezza nti mu mazima yeetaaga omwami anaamuwasa nga naye mwetegefu okumutwala ewaabwe amwanjulire abazadde.

Mpologoma agambye nti abawagizibe baagala kumubuzaako waawummulira anti buli lwebamulabako bamubuuza mwami ng’abasinga balowooza nti akyatinkiza n’omuyimbi Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr Tee eyali mwamiwe okumala ekiseera.Mpologoma agambye nti Dr Tee yeefuniradda ekimyula ki-nkubakyeyo kyeyawasa era n’amwesonyiwa nga kati nnyabo waabwe ebiro bino talina amubikka wadde amugumya weyandibadde yeetaagira omubeezi.

 

 

 

-Bukedde

[fbcomments data-width="100%"]