Besigye

Besigye azzeemu okukwatibwa

Eyaliko Ssenkaggale wa FDC Ret Col Dr Kiiza Besigye azzeemu n’akwatibwa n’aggalirwa ku kitebe kya poliisi ye Nalufenya mu Jjinja bw’abadde ateekateeka okusisinkana abasuubuzi n’abakulembeze mu katale akamanyiddwa nga Kazimingi.

Agavudde e Jijina gategeezezza nti poliisi yakedde kwetooloola wooteeri ya Sun Set Omukulu ono gyeyakwatidde ekisula n’emulinda atandulule ebigere afulume asisinkane abasuubuzi baabadde alina okusisinka mu ttundu lya leero emukwate.Kinajjukirwa nti n’olunaku lwajjo bweyabadde n’enteekateeka esisinkana abataka mu Munisipaali ye Njeru poliisi yamuyodde n’abamu ku bakulembeze banne mu kibiina okwabadde Wafula Oguttu ne Mayor we Bugiri.

[fbcomments data-width="100%"]