Ibrahim Ssemuju Nganda

BBULULU WAAKUMAAMIRA KAMPALA ENKYA, FDC ERAGIDDE

Bannakibiina kya FDC bavuddeyo ne bategeeza nti bakyasibidde ku bboyikooti yaabwe ey’obutava waka kugenda kukola nga bwagwali n’essabbiiti eno.

Bwayogeddeko n’omusasi waffe,Ssekamwa w’ekibiina kino Omubaka Ibrahim Ssemuju Nganda ategeezezza nti bo nga bannayuganda abakwatibwako ensonga baakusigalanga mu maka gaabwe buli lwakuna nga newetwogeredde abadde mu makaage agasangibwa mu munisipaali ye Kira e Kirinnya-Bukasa ng’akabonero akalabika akalaga nti omukulembeze waabwe musibe naye takyava waka.

Kinajjukirwa nti Besigye bukyanga abeesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga balondebwa musajjawattu taseetulanga kigere kuva mu makaage e Kasangati mu ggombolola ye Nnangabo.Ssemuju agambye nti enkya lwerwokutaano lwebatandika kaweefube waabwe omujja ow’okwambala ebyambalo bya bbululu nga bawakanya eky’omukulembeze waabwe okusibirwa mu makaage.

 

[fbcomments data-width="100%"]