HRW

BANNAMAWULIRE BAKOLE OGWABWE MU KULONDA

Ekibiina ekiri mu buyinza ne Gov’t yaakwo gyebinaakoma obutagambwangako bannamawulire na kubaanika buziina eggwanga gyerinaakomanga obuteeyagalira mu kulonda kwa mazima na bwenkanya.

Mu kiwandiiko ekiwerako emiko amakumi 48 ekifulumiziddwa aba Human Rights Watch ekituumiddwa’’Keep the people informed’’ ekivvuunulwa nti ‘’Mumanyisenga bannayuganda ku bigenda mu maaso’’ n’okusingira ddala mu kiseera nga kino ng’eggwanga lyeteekereteekera okulonda.

Maria Burnet omu ku bakafulu mu kukola okunonyereza mu kibiina kino ekya Human Rights Watch ategeezezza nti baakoze okubuuliriza ku bannamawulire abasukka mu 170,abalwanirizi b’eddembe,bannabyabufuzi abali ku luuyi oluwabula Gov’t nebakakasa nti embeera eno eri bannamawulire mbinnyo nga baliko bye boogedde ku Gov’t.

Ono agambye nti bannamawulire naddala abagasakira emikutu gya wano egiweereza mu nnimi ennansi bazzenga batulugunyizibwa ntakera bangi nebakwatibwa nebaggalirwa,bangi bagobeseddwa ne ku mirimu n’abandi nebasindiikirizibwa nga byonziira lwakuwandiika na kusoma ku banene bannantagambwako sso n’emikutu kwebabyogeredde negitiisibwatiisibwa okuggalwa n’okuwererwa ddala.

Burnet era ategeezezza nti ye bwekatanda omukutu gwa Radio oba Telefayina gwonna negukyaza omu ku bali ku luuyi oluwabula Gov’t oba abeesimbyewo ku bifo ebinene mu ggwanga olwo zidda okunywa.

[fbcomments data-width="100%"]