BANNAKYEWA BATADDEWO OMUKUTU KU NGUZI

BANNAKYEWA BATADDEWO OMUKUTU KU NGUZI

Ebibiina by’obwannakyewa bisabye ekitongole kya Kaliisoliiso wa Gov’t n’ab’eby’okwerinda mu ggwanga wano batandike okukeberanga ku muko gw’amagezi ag’ekikugu ogumanyiddwanga WWW. IPAID A BRIBE basobole okwongera okunonyerezanga ku buli bw’enguzi obuli mu ggwanga omuko guno bwebuggyayo.

Bino byegereddwa mu lukungaana lwa bannakyewa olukwanaganyiziddwa bannaabwe aba Action Aid Uganda ne Human Rights Network mwebasisinkanidde abaduumizi ba poliisi mu ttundutundu lya Kampala n’emiriraano nga batema empenda mwebanaayita okulaba nga basanyawo omuze gw’obukenuzi n’obulyake mu ggwanga.

Akulira eby’enteekateeka mu kibiina kya Action Aid Uganda Timothy Kabaale ategeezezza nti ng’abakungu bano bayita ku mukutu guno oguteekeddwawo bannakyewa bano baakwongera okumanya obukenuzi gyebutuusizza eggwanga lino na bwangeriki kubanga bannansi bennyini be bagenda okuwandiikangako embeera ezooleka obulyake n’obukenuzi obweyolekera mu mpeereza ya bannansi.


PHOTO: democracyspot.net

[fbcomments data-width="100%"]