Net photo

BAD BLACK ASUUBIZZA OKUKUBA BANNAYUGANDA OMUZIKI

Mwanamuwala Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black ekkomera alifulumye na nkuba mpya anti oluvuddeyo n’asuubiza bannayuganda okubakubira emiziki beekwate ne mu byenda.Bad Black wetwogerera ayolekdde situdio kuyimba ayolese ekitone kyeyafunidde mu kkomera mwamaze emyaka ebiri.Shanita Namuyimbwa ategeezezza nti manager(maneja) gwalina amuganye okwatuukiriza ennyimba z’aleeta ssikulwa ng’abayimbi ba wano bazikoppa nebazibba.

Bino Badblack abyogedde bwabadde akyaziddwa ku Tv ya Delta mu program ya Mega Doozi eweerezebwa Katongole Omutongole. Wabula bwabadde mu program eno akubye Katongole ekimoni bwayagadde okumukwanira kumpewo, bwagambye nti tasobola kumulabirira wadde olunaku bweruti mbu kubanga ye nga Badblack wabbeeyi nnene mpozzi ng’ayagala atunde akamotoka ke n’ebyobugaggabwe.

Bad black agambye nti ye yeetekamu ebinusu kubanga n’okumufula omweru eddagala yalikima Thailand,era kati agenda kuddayo mbu aleete ekizigo ekipya olwo akasusu kafuukire ddala ka muzungu.

Badblack bwabuuziddwa oba akyali ne Bbaawe omuzungu Greenhard, agambye nti ye tabeerangako na bba muzungu nti era ne Meddy Ssentongo tamumanyi, kirabika Badblack oli omuddugavu y’abamanyi naye ono Badblack omweru tabamanyi.

Badblack agambye nti omusajjawe gwalina kati tajja kumwogera mu bantu, wabula ali muno mu Uganda era teri amusinga kunyirira nansimbi.

[fbcomments data-width="100%"]