babu

BABU ATABUKIDDE MUSEVENI,WUMMULA

Eyaliko minister w’eby’amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Cap Francis Babu akakasizza nti Kabwejungira M7 akoze ekimala  nga kye kiseera entebe agikwase omuntu omulala.

Ono asinzidde ku lutimbe lwa Terefayina ya NBS emu ku z’amanyi mu ggwanga mu Kalasamayanzi akayise n’ategeeza nti kituufu Mwami Museveni aliko byakoledde eggwanga era bannayuganda tebali nga bweyabasanga wabula kyebayita Demokulaasiya kimukaluubiridde okussa mu nkola era ng’amawanga amalala bwekigalema abantu nebalondanga wabula okulonda ne kwetabikangamu ebitategeerekeka bulungi era abantu nebatakulemberwa be beerondedde mu mirembe.

[fbcomments data-width="100%"]