burns

Ayokezza abadde yasuulawo ogw’obulaalo n’amusuula mu dwaliro

Kaanakalenzi ak’emyaka 14 ka Benson Nuwandinda akabadde kawenjezebwa okumala ennaku mu district ye Mbarara kasangiddwa mu ddwaliro lya Rwashamaire Health Center gyajjanjabirwa ebiwundu by’omuliro.

Agavudde eruuyi eyo gategeezezza nti omwana ono Nuwandinda ow’okukyalo Kitojo eky’omuggombolola ye Bwongyera yayokebwa eyaliko mukamaawe George Kananura omutuuze mu Town Council ye Nyamunuka ng’amulanga kusuulawo mulimugwe ogw’okulunda enteeze n’adda ku ssomero ate oluvannyuma n’addayo amusabe omulimu gwe gumu.

Omwana ono annyonnyodde nti olwatuuka ew’omusajja ono n’asibwa n’awanikwa waggulu w’effumbiro nebamukooleereza essanja wansi nerimubabula mbu ng’alangwa kubbayo ngoye.Nnyina w’omwana ono ategeezezza nti mutabaiwe abadde amaze ennaku nnya nga talabwa oluvannyuma n’ategeezebwa nti yalabiddwako mu ddwaliro ku kitanda.

[fbcomments data-width="100%"]