orna

Anaanaaba mu ngalo obulungi y’anaawona corona virus

Bya Lule Kizindo

Okunaaba mu ngalo obulugi era buli kadde y’empisa ey’oku mwanjo mu kaweefube w’okulwanyisa n’okuziyiza ensaasaana y’ekirwadde ki Lumirabantu ekya COVID 19 ekisaasanyizibwa akawuka akamanyiddwanga Corona Virus.Bwayogeddeko ne bannamawulire Omusomesa mu bbanguliro ly’abasawo wano e Makerere erya Makerere School for Public Health Dr Wilbroad Mwanje agambye nti ssinga abantu bonna beemanyiiza enkola y’okunaaba mu ngalo obulungi ensaasaana y’ekirwadde kino ekitadde ensi yonna ku bunkenke enaaba ekendeezeddwa.

Ye munne omusawo mu Mulago era omusomesa mu bbanguliro lino Dr David Musoke ategeezezza nti abantu bangi bwe bamaliriza ate okunaaba obulungi mu ngalo beesiimuuliza ku ngoye zaabwe ate eziyinza okuba enkyafu nebazza obukyafu ku ngalo ze baba banaabye.

[fbcomments data-width="100%"]