obukadde-11-bawandiisizza-amasimu

OBUKADDE 11 BAWANDIISIZZA AMASIMU

Abantu abasoba mu Bukadde ekkumi n’akamu be bamalirizza okuwandiisa amasimu gaabwe mu nteekateeka y’okugakwataganya ne kkaada z’eggwanga eyalangirirwa gyebuvuddeko.

Minister w’eby’obutebenkevu mu ggwanga Henry Tumukunde mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku kitebe kya UCC ategeezezza nti Gov’t mmalirivu okuggyako amasimu ga bannayuganda abanaaba bajeemedde enteekateeka eno.Ye akulira ekitongole kya UCC Godfrey Mutabaazi ategeezezza nti basuubira okuwandiisa ssimu Obukadde amakumi 23.

Kivvuunuddwa Charles Kizindo

[fbcomments data-width="100%"]