skull

AKWATIDDWA N’AKAWANGA K’OMUNTU MU NSAWO

Omusajja awonedde watono okugajambulwa abatuuze mu district ye Luweero oluvannyuma lw’okusangibwa n’akawanga k’omuntu awamu n’omwana omuto gwateeberezeddwa okuba ng’abadde amutwala kumusaddaaka.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Savanna Lamek Kigozi ategeezezza nti omusajja ono ategeerekesenga Ssevviiri Eneriko mutuuze we Wankaanya ekisangibwa mu ggombolola ye Kikyusa ekisangibwa mu district ye Luweero.

Omusajja ono akwatiddwa mu bizinga bye Kkoome gyabadde agenze okufuna ebirala ku by’abadde yasabwa Omuganga asobole okulondoola emikisagye.Kigozi ategeezezza nti omusajja Ssevviiri bwabuuziddwa kajjojijjoji w’ebibuuzo ebibuzeeko akatono n’okumukwasa kanzungu ku wa gyabadde atwala akawanga n’omwana abategeezezza nti aliko omusawo eyamulagula okusomoka emiteeru gy’alina n’amutuma akawanga kano,eddiba ly’engo n’ebirala ebitali byangu kufuna okwo n’agattako amayinja abiri geyamugamba okulonda ku kizinga kye Kinnyi mu nnyanja Nalubaale.Kigozi ategeezezza nti omusajja ono amugambye nti okukwatirwa mu bizinga e Kkoome yabadde mu lugendo olugenda ku kizinga Kinnyi alondeyo amayinja agaamutumwa.Ono kati akuumirwa ku kitebe kya poliisi e Luweero.

[fbcomments data-width="100%"]