akubye-mutoowe-ejjinja-ku-mutwe-nafa

AKUBYE MUTOOWE EJJINJA KU MUTWE N’AFA

Poliisi e Mbarara eriko omusajja gwetadde emabega w’emitayimbwa lwabigambibwa nti aliko mutoowe Kevin Asiimwe abadde ow’emyaka omwenda gwakubye n’amutta bwebafunyemu obutakkanya.

Atwala eby’okunonyereza ku buzzi bw’emisango e Mbarara Taban Chiriga ategeezezza nti bano babadde mu kuliisa bisolo ku ttale Nicholas Mukundane omutuuze we Nsiika mu ggombolola ye Rubindi amale ave mu mbeera ne mutoowe n’amukuba ejjinja ku mutwe eritamulekedde bulamu.

Ono akutte omulambo gwa mutoowe n’agunyugunya mu kidiba kyebabaddenga banyweserezaamu ente.

Lino lyettemu ery’okuna mu ttundutundu lya Ankole mu bbanga lya ssabbiiti bbiri nga Deus Karegyesa yatta mutabaniwe Deus nga 7th omwezi guno olunaku lwerumu Alkanjero Mugyerwa naye n’attibwa musajjamunne Clinton bwebaali mu kirabo ky’omwenge ne Andy Mugabi n’afumita mukyalawe Patience Nahabwe ng’amulanga kumisiiga kirwadde kya Kiryatabaala.

Photo: ChimpReports

[fbcomments data-width="100%"]