Eyaliko omubaka omukyala owa district ye Kisoro Eudia Kwizera assizza omukka ogw’enkomerero enkya y’olunaku lwa leero wano mu ddwaliro e Nsambya.
Ekimbe ekimunnyudde egy’ensi eno tekinnavaayo mu butongole nga wabula muganda w’omugenzi Miriam Tumuheirwe Katabariza akakasizza okufaakwe.
Ono abadde mutuuze we Rubugiri mu ggombolola ye Kirundo e Kisoro nga yakiikirira Kisoro okumala ekisanja kimu bweyawandulwa Sarah Mateke Nyirabashitsi.
Kivvuunuddwa Charles Kizindo
Photo Credit: The Ugandan