eplilpsy

Ab’ensimbu zibakuba buteddiza olw’ebizibu

Bya Kizindo Lule

Bannakyewa abeekebakkeba eddimu ly’okubudaabuda bannayuganda abatawanyizibwa obulemu bw’Ensimbu aba Epilepsy Support Association of Uganda awamu n’okubamanyisa bwe basobola okubeezaawo obulamu bwabwe obulungi beeraliikiridde olw’okweyongera kw’ebigwo by’ensimbu mu bantu baabwe.

Akulira bannakyewa bano omukyala Sarah Nekesa bwetwogeddeko naye enkya ya leero ategeezezza nti embeera eri mu ggwanga ey’okweraliikirira wakati mu butamanya kiki kiyinza kuddirira ssaako abantu kyenkana bonna okusiiba awaka nga n’eky’okulya oluusi tebalina abantu baabwe bangi ensimbu zeeyongedde okubakuba engeri gyebuli bulwadde bwa bwongo.Nekesa era agambye embeera y’ebigwo eno eriwo esajjuddwa n’obukalubo obuliwo okutuuka mu malwaliro gyebaalifunye obujjanjabi.

[fbcomments data-width="100%"]