john-ssebaana-kizito

AB’ENJU YA SSEBAANA BASIIMYE KCCA OLW’OKUSIIMA EMIRIMUGYE

Omulabirizi w’Obulabirizi bwa West Buganda Kitaffe mu katonda The Right Rev Henry Katumba Tamale asinzidde mu lutikko Namirembe mu kusabira omwoyo gw’omugenzi eyaliko Ssenkaggale wa DP John Ssebaana Kizito n’akubiriza abantu okujjukiranga okukolerera eggulu n’okumanya nti enkomerero ya byonna omuntu waakusisnkana Katondawe.

Bo bannabyabufuzi ba wano ab’amannya bangi nga bakulembeddwamu Ssenkaggale wa DP Norbert Mao beetabye mu kusabira omwoyo gw’omugenzi nga Kkanisa ekubyeko n’ebooga ng’oluuyi lw’Obwakabaka bwa Buganda lukulembeddwamu Kamalabyonna Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga ng’olwa Gov’t lukulembeddwamu Nnampala wa Gov’t Ruth Nankabirwa.

[fbcomments data-width="100%"]