kazimba

Abe Mityana baanirizza omusika wa Kazimba Mugalu

Mussaza lya Beene erye Ssingo Bannamityana bakunganidde ku Kanisa ye Kyankoowe mu Mityana okwaniriza omulabirizi omulonde owobulabirizi obwo Rev Ssalongo James Bukomeko egenda okudda mubigere bya Ssaabalabirizi omulonde Rt Rev Stephen Kazimba Mugalu.Ebikumi nebikumi bya bakulisitayo,basimbye enyiriri kumulyango oguyingira kanisa eno webazimbye ekiyitirirwa okwaniriza omulabirizi Bukomeko.

Oluseregedde lwemotoka Omulabirizi lumulindidde Zigoti,wakati mukubiibya okuva mubaana bamasomero nabantu abenjawulo.Rev Ssalongo Bukomeko James eggulo yasibudde okuva mubusumba bwe Nansana gyabadde awerereeza naayolekera e Mityana gyeyalondebwa okudda mubigere bya Kazimba Mugalu agenda okutuuzibwa ku bwa ssabalabirizi bwe kanisa ya Uganda.

[fbcomments data-width="100%"]