meds

ABE KYENGERA BALANGIDDE MUSEVENI KU DDAGALA MU MALWALIRO

Abatuuze mu kabuga ke Kyengera akasangibwa mu ggombolola ye Nsangi mu district ye Wakiso ku mwasanjala ava e Kampala okudda e Masaka bategeezezza omukulembeze w’eggwanga lino YKM7 nti eddwaliro lye balina mu kitundu kino teribangamu ddagala buli lwebagenda okujjanjabwa era baakimanyiradda nti abasawo buli lwebagendayo babasindika kugula ddagala mu bulwaliro obw’obwannanyini obungi mu kitundu kino ate obuseera eddagala ekiyitiridde.Bino babimutegeerezza mu kisaawe ky’essomero lya Summit erisangibwa okumpi n’akabuga kano bwabadde abaperereza bamuyiire akalulu akanaamuzza mu ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.

MUseveni  bwavudde e Kyengera yeeyongeddeyo e Butambala n’empigi era gyakubye enkungaana ez’enjawulo.Eruuyi eno M7 abavubuka abasuubizza emirimu ate n’agugumbula n’ebitongole ebiwola abantu ensimbi nebiwunzika nga bibanyazeeko eby’obugagga bwabwe byagambye nti amangu ddala ng’azze mu ntebe emuleebuukanya waakubikwatako alabe nga tebiddamu kumalako bataka gya Nakakaawa.Omusasi waffe Nsereko Balikuddembe atutegeezezza nti M7 kakuyegewe yamutandikidde mu kabuga ke Kibibi wuuyo Buwama n’asembyayo e Mpigi n’olukungaana olunene.

[fbcomments data-width="100%"]