janet

Abawala basingidde wala abalenzi

Abayizi ab’obuwala abaatuula ebigezo by’akamalirizo ebya senior ey’omukaaga omwaka oguwedde 2019 banyweddemu bannyinaabwe ab’obulenzi Akendo.Bwabadde afulumya ebyavudde mu bigezo by’abayizi emitwalo ekkumi mu enkumi ennya,Dan Norkrach Odong nga ye Ssaabawandiisi wa UNEB ategeezezza nti abaana ab’obuwala abaayise amasomo asatu asatu n’okudda waggulu bali ebitundu 41.4% ssonga ab’obulenzi bali ebitundu 34.7%.Odong ategeezezza nti abaana ab’obuwala abaayise amasomo abiri abiri bali ebitundu 67.9% ate nga bannyinaabwe ab’obulenzi bali ebitundu 60.6% n’abaayise essomo erimu limu ab’obuwala ne babeera ebitundu 99.1% ab’obulenzi ne babeera ebitundu 98.3%.

Gwo omuwendo gw’abaana abaliko obulemu ku mibiri abazze batuula ebigenzo bino gweyongedde okuva ku baana 177 ne gudda ku baana 205 omwaka guno.Dan Norkrach Odong ategeezezza nti omwana ow’obulenzi Kalangao Joseph eyatuulira mu ssomero lya Iganga SS yayitidde ku madaala ga BBA n’ayita n’essomo ery’olukale erimanyiddwa nga General Paper n’obubonero 18.

Kyo ekibbabigezo kyongeredde ddala okukendeera bwogeraageranya ne bweguzzenga gubeera emyaka egiyise.Ssentebe w’olukiiko oluddukanya ekitongole ky’ebigezo kino Mary Okwakor asinzidde mu kufulumya byava mu bigezo bino omwaka oguwedde n’agamba nti kaweefube gwebazzenga bassaawo mu kulwanyisa ekibbabigezo atuukirizza ebiruubirirwa byabwe.Agamu ku masomero agalindiridde amakula g’ebinaava mu bigezo by’abaana abaagatuuliramu era abaagasomeramu kuliko,Nabisunsa Girls School,Makerere College School,Mengo senior Sch,Kabowa High School ery’omu ggombolola ye Lubaga wano mu Kampala,Lubiri SS n’amalala.

[fbcomments data-width="100%"]