hand-washing

Abasuubuzi e Kaleerwe bakaaye olwa COVID19

Ng’eggwanga likyagenda mu maaso n’obwerinde bw’ekirwadde kya COVID 19,banneekoleragyange abakakkalabiza mu katale e Kalerwe bakutte oluwenda olwabalagiddwa ministry y’eby’obulamu.Agavudde mu katale ako gategeezezza nti ebidomola n’essabbuuni ebyeyambisibwa okunaaba mu ngalo biteekeddwa mu buli nta nga ttaano ttaano era abaguzi bonna mpaawo akkirizibwa kubiyitako yadde okuguzibwa ekintu kyonna nga tanaabye ngalo ssonga n’emidaala gyonna buli gumu gwekuumye dda.

Ku luuyi lw’ebyeyambisibwa okubikka ennyindo zewaaliyise Masks tutegeezeddwa nti abasuubuzi abatetenkanya batandise okuzikolerera mu bugoye obwa Ppamba ne laasitiika ng’etandikirwako egula shilling 1000.Byo ebitundibwa byonna birinnyisiddwa bbeeyi era ng’omuwendo gw’abaguzi omusasi waffe waatuukiddeyo nga gulinnyidde ddala bwogeraageranya ne bwegubadde ennaku eziyise.

[fbcomments data-width="100%"]