kabale

ABASAWO E KABALE BEEKALAKAASIZZA LWA NSAKO YA MYEZI ENA

Abasawo abali mu kwegezesaamu mu ddwaliro ekkulu e Kabale beesuddemu jjulume nebagaana okuddamu okubaako akalimu kebakwatako ng’entabwe evudde ku nsako zaabwe kati eziweze ez’emyezi ena nga mpaawo kagudde mu ggwanika lyabwe.

Agavudde ku ddwaliro lino galaga nti ministry y’eby’obulamu erina mu ddwaliro lino abasawo abeegezesa amakumi 26 nga buli omu buli mwezi ateekeddwa okusasulwanga Obukadde bubiri bubiri n’emitwalo nkaaga obwa ssente za wano.

Omu ku basawo bano ataagadde kwatuukirizibwa mannya ategeezezza nti kyenkana be batambuza eddwaliro lino wabula abakulu waggulu okulafuubana kwabwe tebakusiima.Tugezezzaako okuwuliziganya n’atwala eddwaliro lino Dr Alex Andema n’agaana okubaako kyayogera ku nsonga eno olw’ensonga nti tasangiddwa ku ddwaliro.

Kitegeezeddwa nti abakulira eddwaliro lino bayiseewo olukiiko mu kaweefube agendereddwamu okugonjoola ensonga wabula abasawo bano tebeefiirayo ku kubeerawo kwalwo nga bagamba nti enkiiko ez’ekika kino zizze zitegekebwa ng’abakulu badda mu kubatiisatiisa temuli mulamwa nebagamba nti bo kabalinde atwalira ddala eddwaliro akomewo weesanga anaasobola okuwulira n’okutegeera embeera mwebali.

 

[fbcomments data-width="100%"]