ebola

Abalwanyisa Ebola baterebuse ejjamba likendedde

Abalwanyisa ekirwadde kya Ebola mu district ye Kisoro beeraliikiriddemu olw’okuggyibwayo kw’abajunyi ab’ekitongole kya Uganda Red Cross Society abaali bayunguddwayo.Ronald Kanyerezi avunanyizibwa ku mirimu gy’ekitongole kino mu district eyo ategeezezza nti abajunyi bano baali bayiiriddwa ku nsalo z’amawanga okuli eya Uganda-Rwanda ne Uganda-DRCongo ng’abasinga ku bano bagenze baggyibwa ku nsalo kwe babadde bamaze ekiseera okuli eye Kanombe,Busanza,Rugabano ne Busigi ng’oggyeeko abali e Bunagana ne Chanika nga Nnabe asinze kuva ku bufunda bwa nsawo.

Kanyerezi agamba nti entegeeragana n’ekitongole International Organization for Migration ey’okubawanira yaggwaako nga kale ssi kyangu kugira nga bakyabakuumira mu bifo ebyo.Ye atwala eby’obulamu eruuyi eyo Dr Steven Nsabiyunva ategeezezza nti okuggya abakulu abo ku nsalo kkonde ddene nnyo eri kaweefube w’okwetangira ekirwadde kya Ebola.

[fbcomments data-width="100%"]