tobacco

Abalimi ba taba basobeeddwa, baalimira busa

Abakunsammimbi abasoba mu kikumi mu ttundutundu lya Acholi batubidde n’amakungula ga taba gwe baagwako ekiyiifuyiifu ne balima nga balagirwa ekitongole kya Alliance One Tobacco aweramu Akawumbi ka ssente za wano kalamba n’Obukadde ebikumi bina.

Agavudde eruuyi eyo gategeezezza nti abalimi mu district okuli Omoro,Lamwo,Gulu,Nwoya ne Pader baalagirwa abakungu b’ekitongole ekyo ekya Allaince One Tobacco wabula oluvannyuma lw’okukungula abakungu b’ekitongole ekyo ne batandika kuwenjezebwa buwenjezebwa.Omu ku balimi bano amanyiddwanga Benson Okello alimira mu ggombolola ye Odek mu Omoro ategeezezza nti kkampuni eyo yabawa obugabirizi bw’eby’obulimi ng’ensigo n’ebigimusa nga baakubalaganira mu mbala y’amakungula.

[fbcomments data-width="100%"]