gender

Abakyala balabuddwa obutawaganyala eri baami lwa mwenkanonkano

Ng’eggwanga lyeteekerateekera okwegatta ku mawanga amalala okukuza olunaku lw’abakyala nga 8th omwezi guno,omubaka omukyala owa Luweero Nnaalongo Yinginiya Lilian Nakate Sseggujja agamba nti abakyala baalyeyambisizzanga nnyo emyaganya egibateerwawo Gov’t ne Ssemateeka w’eggwanga beekulaakulanye.Bwetwogeddeko naye ku nkulaakulana y’abakyala Nnaalongo Maama Luweero atutegeezezza nti wakyaliwo obumulumulu obutonotono obukyalemesezza abakyala abamu okuggyibwa gye bali n’okusingira ddala ab’omu masosso g’ebyalo ng’abaami bangi tebannabakkiriza kugenda kukola,n’abasaba baabuwe babakkirize bakwasizenga wamu n’ababeezi baabwe obuvunanyizibwa bw’okutambuza amaka n’okuyingiza ssente.

Olunaku lw’abakyala olw’omwaka guno olw’eggwanga lutegekeddwa kukwatirwa mu district ye Mbale ng’emikolo gyakuvugirako omubala oguneetooloolera ku mbavu abakyala ze bafunye okuva mu Ssemateeka w’eggwanga owa 1995 eyabawa ebbeetu eriva gye baali balengererwa.

[fbcomments data-width="100%"]