who

Abakulembeze banenyezeddwa olw’okusaasaana kwa COVID, WHO

Ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna okwongera okusaasana kw’ekirwadde kya COVID 19 kikuneneyerezza bakulembeze b’amawanga ag’enjawulo abeefuula ba Nnampulirazzibi ku kuwabulwa abakugu mu by’obulamu kwebaafulumyanga entakera.Mu kiwandiiko kyafulumizza,akulira emirimu gy’ekikugu mu kitongole kino ekya WHO Dr Tedros Adhanom Ghebreyesus ategeezezza nti enkulungo y’ensi yonna okuba n’abaakakwatibwa abali mu Bukadde Obusatu obw’abantu kivudde ku butawuliriza magezi.

Ono waaviiriddeyo bwati kiddiridde okunenyezebwa okuzze kuwulirwa eri ekitongole kyakulira okuva mu mawanga okuli America ne Taiwan bwagambye nti nga bo aba WHO bawabula buwabuzi na kuwa magezi agava mu kunonyereza okukolebwa bannassaayansi abakugu so tebasobola kuwaliriza mawanga kusalawo ku kyegaagala kukola.

Ghebreyesus ategeezezza nti mu kiseera webaalangirira ekiseera eky’akazigizigi olw’ekirwadde kino nga 30th omwezi ogw’olubereberye abantu 83 bokka be baali baakakwatibwa ekirwadde kino wabweru w’eggwanga lya China wabula amawanga mangi tegaafaayo kuwuliriza ng’ate tegaalina balwadde kyokka wetwogerera omuwendo gwekubisizzaamu ebitagambika nga kati abantu Obukadde busatu n’emitwalo ena mu lukumi be bakakasiddwa okukwatibwa obulwadde buno.

[fbcomments data-width="100%"]