land

ABAAWAGIRA MUSEVENI BAGOBEDDWA KU TTAKA LY’EBIBIRA

Abataka abasoba mu bikumi 300 ababadde bawangaalira ku kitundu ky’ettaka ly’ebibira erisangibwa ku kyalo Mbale mu ggombolola ye Butuntumula mu district eye Luweero ge bakaaba gebakomba oluvannyuma lwa poliisi leero okumalirira okubasengula ku ttaka eriwerako yiika ebikumi 200 kwebabadde ebbanga erisukka mu myaka amakumi ataano.

Ow’eby’okwerinda ku kyalo kino Kabira Wilson ategeezezza nti poliisi eyiiriddwa olwa leero erabika egendereddwamu kubagobera ddala ssonga ettaka lyonna babadde tebalikozesa wabula baliko katundu butundu ke babadde bakolerako n’okuwangaalirako.Kinajjukirwa nti Omubaka omukyala owa Luweero Yinginiya Lilian Nakate Sseggujja yasabye abataka bano okuguminkirizibwa baleke kusindiikirizibwa ng’abatali kwabwe baveeko nga bamalirizza okukungula ebirime byabwe.

[fbcomments data-width="100%"]