Abaasalirwa ebibonerezo ebisusse beekubidde enduulu

Kkooti ejulirwamu yaakuwulira okujulira mu misango egisoba mu 60 egya Nnaggomola ng’abasinga bawakanya ebibonerezo ebyabatyemulirwa bye bagamba nti byasukka obw’omulamuzi.Emisango gino gyakuwulira wakati w’ennaku z’omwezi amakumi 25th omwezi guno okutuusa nga 22nd omwezi ogwa Mugulansigo Ogw’okusatu omwaka guno.

Mu gimu ku misango egiteekeddwa ku lukalala lw’eginaawulirwa kuliko ogw’omukyala Sandra Nnakungu n’omuserikale Jyden Ashiaf abaasalirwa okusibwa emyaka amakumi 20 oluvannyuma lw’okusingisibwa ogw’okwekobaanira mu ttemu ly’eyali omugagga ow’erinnya Eria Ssebunnya Bugembe Kasiiwuukira atenga eyali mukyalawe Sarah Nabikolo agambibwa okussa ensimbi mu ttemu lino yejjeerezebwa era alya Butaala.Mu mirala gwe gw’omukyala Jacqueline Uwera Nsenga eyasingisibwa ogw’okutemula bba Juvenal Nsenga gweyatomeza mmotoka mu maka gaabwe e Bugoloobi nga 10th omwezi ogwa Gatonnya Ogw’olubereberye omwaka 2013 naye amale asalirwe emyaka amakumi 20.

[fbcomments data-width="100%"]