golden band

GOLDEN BAND ESIBA BIKUTUKA

Enkambi ya Golden Production eseeyeeyeza ku mazzi nga kitengejja ensangi zino oluvannyuma lw’omu ku mpagi luwaga muyo Muzzukulu wa Ssenkoole Mesarch Ssemakula okuba omulwadde ebitagambika.Agava mu nkambi eno gagamba nti akaseera keekulungudde nga Ssemakula talabwa mbu wabula bagenze okumanya nga musajja wattu ali ku ndiri lumabala mbiriizi.

Omu ku bayimbi ab’amannya mu Band eno Moureen Nantume omu ku bakyasinze okubeera abeeraliikirivu awandiikidde banne obubaka bw’oku ssimu ng’agamba nti esaala yonna eyeetaagisa okusaba baakugisaba ku lw’obulamu bwa Semakula gw’agambye nti yeeyamufuula kyali nti era taba ye ssinga naye tali kyali.

Ono awandiise n’essaala gyaweerezza eri Kawamigero Katonda ng’amusaba amukuumire obulamu bw’empagi Sseddugge mu bulamubwe Mesarch Ssemakula gwayise kitaawe mu kisaawe kino era ali ku ndiri mu makaage wano e Buziga.Mu ssaala eno Nantume agambye nte azze asaba Mukama bingi era ebinene n’abimukolera awatali kukoowa bwatyo awo waasinzidde era n’amusaba abamujjanjabire kubanga nabo ssikyangu kulama nga ye talamye.Ag’omunkuubo gagamba nti Ssemakula azee atawanyizibwa ekirwadde kya sukaali weewaawo nga Nantume tayogedde kiruma ‘Kitaawe’ Semakula.

[fbcomments data-width="100%"]